(( ASH-HADU ANLAA ILAAHA ILLA LLAHU WAHDAHU LAA SHARIIKA LAHU , WA ASH-HADU ANNA MUHAMMADAN ABDUHU WARASUULUH )) . Amakulu : (Nkakasa nti tewali kisinzibwa mubutuufu okujjako Allah yekka talina kimw’egattako , era nkakasa nti mazima Muhammadi mudduwe era mubakawe).
(( ALLAHUMMA IJ-ALNII MINA TTAWWAABIINA WAJ-ALNII MINAL- MUTATWAHHIRIINA ». Amakulu: (Ayi Allah nkusaba onteeke mubaddubo ab’enenya , era onteeke mub’etukuza).
(( SUBHAANAKA ALLAHUMMA WABIHAMDIKA , ASH-HADU ANLAA ILAAHA ILLA ANTA . ASTAGHFIRUKA WA- ATUUBU ILAIKA )) . Amakulu : (Ayi Allah wayawukana n’amatendo go kubitonde byonna , nkakasa nti tewali kisinzibwa mubutuufu okujjako ggwe , nkusaba okusonyiyibwa era neenenya jooli ) . NB. Edduwa ezo zonsatule zisomebwa zonna nga omaze okufuna wudhu .