By’ava kumutabanyi wa Umar — okusiima kwa Allah kubeere kubombiriri- omubakawa Allah (S.A.W) mulukungaana olumu lweyatuulangamu mwamubalirwangako ekigarnbo kino : (( RABBI GHFIRLII WATUB ALAYYA INNAKA ANTA TTAWWAABUL-GHAFUUR )) emirundi kikumi ( 1 O0) nga tannayimuka kuva mukifo ekyo . Amakulu : (Mukama wange nkusaba onsonyiwe era okkirize okw’enenya kwange mazima ggwe gwe ayennenyezebwa omusonyiyi).