69— EDDUWA NGA TONNABA KULYA

1

((BISMILLAH)). Amakulu : (Ntandika okulya nga nsooka okw’ogera kulinnya lya Allah) . Nabbi yatulagira bwetubanga tutandika okulya tusookenga kw’ogera kulinnya lya Allah , naye bwetubanga twerabidde okumw’ogerako mukutandika okulya tumw’ogereko wetujjukirira bwetuti : (( BISMILLAHI FII AWWALIHI WA- AAKHIRIHI )) Amakulu : (Erinnya lya Allah ly’ogerwa kuntandikwa y’okulya nekunkomerero).

2

Nabbi yagamba nti : omuntu yenna Allah gwaaba awadde emmere agambenga bwaati : (( ALLAHUMMA BAARIK LANAA FIIHI WA ATWI-IMNAA KHAIRAN MINH )). Amakulu : (Ayi Allah tukusaba emmere eno ojituteekeremu emikisa era otugabire (otuliise) ejisinga obulungi) . Nate n’agamba nti : omuntu Allah gwaba anywesezza amata agambenga bwati: ((ALLAHUMMA BAARIK LANAA FIIHI WAZIDNAA MINIHU )) . Amakulu : (Ayi Allah amata gano gatuteekeremu omukisa era otwongere amalala) .

Zaker copied