(( ALLAHUMMA IH-DINII FIIMAN HADAITA , WA AFNII FIIMAN AAFAITA , WATAWALLANII FIIMAN TAWALLAITA , WABAARIK LII FIIMAA AATWAITA , WAQINII SHARRA MAA QADHAITA , FA- INNAKA TAQ-DHII WALAA YUQ-DHAA ALAIKA , INNAHU LAA YAZHILLU MAN WAALAITA , WALAA YA-IZZU MAN AADAITA, TABAARAKTA RABBANAA WATA-AALAITA)). Amakulu : (Ayi Allah nkusaba onteeke mw’abo bewalungamya , era omponye mbeere mw’abo abatalina ndwadde , onnonde mbeere mw’abo bodduukirira , ompe omukisa mw’ebyo byongabidde , onkingirize buli kibi kyewagera , mazitma ggwe alamula , atalina akulamula , mazima tanyoomwa oyo gw’oyagala , era tagulumizibwa oyo gwo’tayagala , mulezi waffe erinnya lyo lyajjula emikisa , era oli w’awaggulu nnyo).
(Edduwa eno yawandiikiddwa era nevvunulwa kudduwa No. 47 .
(( ALLAHUMMA IYYAAKA NA- ABUDU , WALAKA NUSWALLII WANASJUDU , WAILAIKA NAS-AA WANAH- FIDU , NARJUU RAHMATAKA WANAKH- SHAA AZHAABAKA . INNA AZHAABAKA BIL-KAAFIRIINA MUL-HAQUN , ALLAHUMMA INNAA NASTA-IINUKA WANASTAGHFIRUKA , WANUTH-Nll ALAIKAL-KHAIRA , WALAA NAKFURUKA , WANU-UMINU BIKA , WANAKH-DHAU LAKA , WANAKH-LAU MAN YAKFURUKA )) Amakulu : (Ayi Allah ggwe wekka gwetusinza , era tusaala netuvunnama kululwo , tweeyuna era twanguwa nga tudda jooli , tusuubira okusaasirakwo okunene , netutya ebibonerezobyo ebiruma , mazima abakuwakanya kyaddaaki ebibonerezobyo bijja kubatuukako . Ayi Allah mazima ffe tukusaba okuyambibwa , n’okusonyiyibwa , era tukusuuta mungeri esinga obulungi , tetukujeemera , tukukkiriza era netukugondera , era tw’esamba oyo yenna akujeemera) .