(Ateeka wamu ebibatubye byombiriri n’awandamu olulusulusu oluvannyuma n’asomeramu essuula zino essatu (AL-IKHLAAS , AL-FALAQ ne NNAAS) bwamala okuzisoma yesiimuula n’ebibatu byombiriri omubirigwe gwonna nga atandikira kumutwe nazzaako ekyenyi , oluvannyuma ebiyungo ebiddirira Akola bwaatyo emirundi esatu (3) . Essuula zino ziwandiikiddwa era nezivvuunulwa kudduwa No. 70
Ayah eyekitiibwa eyitibwa : (AAYATUL-QURSIYY). Omuntu bw’ajisoma nga agenda okw’ebaka akuumibwa ekiro kyonna , era sitaani temusemberera okutuusa lwebukya. Aya eno yawandiikibwa era nevvuunulwa kudduwa No. 71 .
(( AAMANA RRASSUULU BIMAA UNZILA ILAIHI MIN RABBIHI WAL-MU- UMINUUN , KULLUN AAMANA BILLAHI WAMALAAIKATIHI WAKUTUBIHI WARUSULIHI , LAA NUFARRIQU BAINA AHADIN MIN RUSULIH , WAQAALUU SAMI- ANAA WA ATWA-ANAA GHUFRAANAKA RABBANAA WAILAUKAL-MASWIIR . LAA YUKALLIFU LLAHU NAFSAN ILLA WUS- AHA , LAHA MAA KASABAT WA ALAIHAA MAAQTASABAT , RABBANAA LAA TU- AAKHIZHNAA IN NASIINAA AW-AKH-TWA- ANA , RABBANAA WALAA TAHMIL ALAINAA ASW-RAN KAMAA HAMALTAHU ALA LLAZHIINA MIN QABLINA , RABBANAA WALAA TUHAMMILNAA MAA LAA TWAAQATA LANAA BIHI , WA-AFU ANNAA WAGHFIR LANAA WAR—HAMNAA ANTA MAULAANAA FANSWURNAA ALAL- QAUMIL-KAAFIRIIN)). Amakulu : (Omubaka Muhammadi yakkiriza ebyo ebyassibwa jaali okuva eri omulezi we Allah , nabakkiriza (nabo bakkiriza) , Buli omu kubo yakkiriza Allah nebamalaikabe n’ebitabobye n’ababakabe (nebagamba nti) tetwawula wakati w’omu kubabakabe (tubakkiriza kyenkanyi) era baagamba nti tuwulidde era tugonze , omulezi waffe (tukusaba) okusonyiwakwo era jooli yeeri obuddo . Allah talaalika kumuntu kukola kintu kyonna okujjako ky’asobola , alina empeera kwekyo kyakoze ekirungi era alina okuvunaanwa kw’ekyo kyakoze ekibi , (era basaba nti) omulezi waffe totuvunaana bwetuba nga twerabidde oba tusobezza , mulezi waffe totutikka mugugu muzito nga bwewagutikka abo abaatukulembera , mulezi waffe totutikka ebyo byetutasobola , tusonyiwe era tusanguleko eby’onoono byaffe otusaasire , ggwe mulezi waffe (tukusaba) otutaase ekibiina ekiwakanyi ekijeemu) . NB. Omuntu asoma aya ezo zombiriri ekiro zimumalira okuwona obuzibu bwonna mukiro ekyo .
(( BISMIKA RABBII WADHA-ATU JAMBII , WABIKA ARFAUHU . FAIN AMSAKTA NAFSII FARHAM-HA , WAIN ARSALTAHAA FAHFAZW-HAA BIMAA TAH- FAZWU BIHI IBAADAKA SSWAALIHIIN )) . Amakulu : (Kulw’erinnyalyo omulezi wange ntaddewo olubiriizi lwange (n’ebake) , era ndujjawo (nzuukuka) kulw’obuyinzabwo (nkusaba) bw’oba otutte omw’oyo gwange ogusaasire , naye bw’oba okyandeseewo akaseera , omw’oyo gwange gukuume n’ekyo ky’okuuma nakyo abaddubo abalongoofu). NB. Nabbi (S.A.W) yatulunganya nti omu kuffe bwaavanga mubuliribwe tabuddangamu okujjako nga amaze okubukubaakubako emirundi esatu (3) era asome erinnya lya Allah aly’oke y’ebake , kuba tamanyi ky’amusikidde weyabuviiridemu , bwamala okwebakira kuludda lwe olwaddyo asome edduwa No. 102 .
(( ALLAAHUMMA INNAKA KHALAQTA NAFSII WA ANTA TAWAFFAAHA , LAKA MAMAATUHA WAMAHYAAHA , IN AHYAITAHA FAHFAZWHA , WA IN AMATTAHAA FAGHFIR LAHA , ALLAHUMMA INNII AS- ALUKAL-AAFIY AH)) Amakulu : (Ayi Allah mazima ggwe watonda omw’oyo gwange era ggwe agufiisa , okufa kwagwo n’obulamu bwagwo biri mumikonojo . nkusaba bw’oba oky’aguwadde obulamu ogukuume , naye bw’oba ogufiisizza nkusaba ogusonyiwe. Ayi Allah mazima nze nkusaba obulamu obulungi) .
(( ALLAHUMMA QINII AZHAABAKA YAUMA TAB-ATHU IBAA-DAKA )) *3 . Amakulu: (Ayi Allah nkusaba onkingirize ebibonerezobyo kulunaku lw’ogenda okuzuukiza abaddubo) . NB. Edduwa eno eddibwamu emirundi esatu (3) , era nabbi (S.A.W) yassanga omukonogwe ogwaddyo wansi wettamalye n’alyooka ajisoma .
(( BISMIKA ALLAHUMMA AMUUTU WAAHYAA)). Amakulu : (Ayi Allah kulw’erinnyalyo (n’ebaka) ne nfa era nenzuukira) .
(( ALLAHUMMA RABBA SSAMAAWAATI SSAB—l WARABBAL— ARSHIL-AZWIIM , RABBANA WARABBA KULLI SHAY-IN , FAALlQAL-HABBl WANNAWAA WAMUNZILA TFAURAATI WAL-INJIIL WAL-FURQAAN , AUUZHU BIKA MIN KULLI SHAY-IN ANTA AAKHIZHUN BINAASWIYATIH. ALLAHUMA ANTAL- AWWALU FALAISA QABLAKA SHAY-UN WA ANTAL-AAKHIRU FALAISA BA-ADAKA SHAY-UN WA ANTA ZZWAAHIRU FALAISA FAUQAKA SHAY-UN , WA ANTAL- BAATWINU FALAISA DUUNAKA SHAY-UN , IQ-DHI ANNAA DDAINA WA AGHNINAA MINAL-FAQR)). Amakulu: (Ayi Allah omulezi w’amagulu omusanvu era omulezi wannamulondo engulumivu , mukama waffe era omulezi wabuli kintu , ameza empeke nensigo , nannyini kussa Tauraati ne Enjiil ne Qur’an , n’ewogoma jooli omponye obubi bw’abuli kintu ky’owaniridde akawompo kaakyo , Ayi Allah ggwe eyasooka teri kintu lubereberyelwo , era ggwe asembayo tewali kiriwo luvannyumalwo , ggwe ow’olwaatu teri kiri wagguluwo , era ggwe ow’omunda awatali ky’ekusifu ky’otomanyi . nkusaba otumalire amabanja era otuwonye obw’avu) .
(( SUBHAANA LLAH)) *33 (( WAL- HAMDU LILLAH )) *33 (( WALLAHU AKBAR )) *34 . Amakulu : (Allah wanjawulo nnyo! , n’amatendo amalungi gonna ga Allah , era Allah munene nnyo) . NB. Omuntu ayogera ebigambo ebyo mukiseera wagendera okw’ebaka , kimusingira okuba n’omuweereza .
(( AL—HAMDU LILLAHI LLAZHII ATW- AMANAA , WASAQAANAA , WAKAFAANAA ,WA AAWAANAA , FAKAM MIMMAN LAA KAAFIYA LAHU WALAA MU-UWIYA )) . Amakulu: (Amatendo amalungi gonna ga Allah oyo atuliisizza era n’atunywesa , n’atumalira era n’atuwa wetusula , kale bameka abatalina abamalira wadde abawa aw’okusula) .
(Edduwa eno ewandiikiddw; Era nevvuunulwa kudduwa N0. 85 , Nabwekityo era esomebwa nga ogenda Okwebaka.
Nabbi (S.A.W) talina lweyagenda kw’ebaka okujjako nga asomye essuurah bbiri (Sajidah 32) ne (Mulk 67) . N’awe bw’oba ogenda okwebaka kirungi nnyo okusoma essuula zino ebbiir , kuba zigenda kuwolereza eyazisomanga) .
111— (( ALLAHUMMA ASLAMTU NAFSII IIAIKA , WAFAWWADHITU AM-RII ILAIKA . WAWAJJAHTU WAJHII ILAIKA , WA AL-JA- ATU ZWAHRII ILAIKA , RAGHBATAN WARAH-BATAN ILAIKA , LAA MAL-JA-A WALAA MANJAA MINKA ILLA ILAIKA , AAMANTU BIKITAABIKA LLAZHII ANZALTA WABINABIYYIKA LLAZHII ARSALTA )) . Amakulu : (Ayi Allah njemulukuse nenzira jooli , ensonga zange nzikulekedde , era njolekezza ekyeenyi kyange jooli , nembudanya omugongo gwange jooli , nga n’egomba okusaasirakwo n’okusonyiwakwo era nga ntya ebibonerezobyo , tewali buddo wadde obuwonero okujjako okudda jooli . Nzikirizza ekitabokyo (Qur’an) ekyo kyewassa , nenabbiwo (Muhammad S.A.W) oyo gwewatuma) NB. Bw’oba oyagala okugenda okw’ebaka funa wudhu nga agenda okusaala oluvannyuma webakire kuluddalwo olwaddyo osome edduwa eyo. Nabbi (S.A.W) yagamba nti omuntu singa akola bw’atyo n’amala afiira mukiro ekyo afiira kubutonde bwennyini.