ENTENDEREZA Z’0KUMAKYA N’OLWEGGULO

1

Hadiith yava ku Anas , nga naye yajijja ku nabbi (S.A.W) yagamba nti : (mazima singa ntuula n’abantu nga boogera ku Allah owekitiibwa okuviira ddala kusswala ey’okumakya (Fajr) okutuusa enjuba lwevaayo kinsingira okuta abaddu abana (4) mubaana ba Ismail , era mazima singa ntuula n’abantu ob’ogera ku Allah okuviira ddala kusswala ey’olweggulo (Asri) okutuusa enjuba lw’egwa kinsingira okuta abaddu abana (4)) . Ayah eno ewandikiddwa era nevvuunulwa kudduwa No. 71 omuntu bwaajisoma kumakya akuumibwa okuwona amajinni okutuusa lwebuwungeera , bwakola bwatyo n’olweggulo era akuumibwa ekiro okutuusa lwebukya .

2

Essuula zino ziwandiikiddwa era nezivvuunulwa kudduwa No. 70 Omuntu bwazisoma emirundi esatu kumakya n’olweggulo bwatyo , zimumala kubuli kimu .

3

(( ASW-BAHNAA WA ASW-BAHAL- _MULKU LILLAH , WAL-HAMDU LILLAH . LAA ILAAHA ILLA LLAHU WAHDAHU LAA SHARIIKA LAHU , LAHUL-MULKU WALAHUL-HAMDU WAHUWA ALA KULLI SHAY-IN QADIIR . RABBI AS-ALUKA KHAIRA MAA FII HAZHA L—YAUMl WAKHAIRA MAA BA-ADAHU WA-AUZHU BIKA MIN SHARRI MAA FII HAZHAL-YAUMI WASHARRI MAA BA-ADAHU , RABBI AUUZHU BIKA MINAL-KASALI WASUU-lL- KIBARI RABBI AUUZHU BIKA MINI AZHAABIN FII NNAARI WA AZHAABIN FIL- QABR)). Amakulu : (Tubukeesezza era nebukeera onufuzi nga bwa Allah , amatendo gonna amalungi ga Allah , tewali asinzibwa mubutuufu okujjako Allah yekka talina kimw’egattako , obufuzi bwonna bubwe , n’amatendo gonna amalungi gage , era ye kubuli kimu muyinza , Ayi Allah nkusaba ompe ebirungi ebiri Mulunaku luno n’ebinmgi ebiriwo oluvannyuma lw’alwo , era n’ewogoma jooli okuwona obubi obuli mulunaku luno n’obubi obuliwo oluvannyuma Iw’alwo , Ayi Allah omulezi wange, n’ewogoma j’oli omponye obugayaavu n’okuwangaala okubi , era n’ewogoma j’oli omponye ebibonerezo by’omuliro n’ebibonerezo by’o muntaana) . NB. Edduwa eno bwetyo bwesomebwa kumakya , naye olweggulo ebigambo ebiriko obusaze obubiri tobisoma , osoma bino . (( AM-SAINAA WA-AMSAL-MULKU LILLAH)) Amakulu : (Tubuwungeezezza era nebuwungeera obufuzi nga bwa Allah ...) . Ate ebigambo ebiriko akasaze akamu nabyo tobisoma osoma bino : (( RABBI AS-ALUKA KHAIRA MAA FII HAZHIHI LLAILATI WA KHAIRA MAA BA- AADAHA , WA AUUZHU BIKA MIN SHARRI MAA FII HAZHIHI ALLAILATI WASHARRA MAA BA-ADAHAA )) Amakulu 2 (Ayi mukama wange nkusaba ebirungi ebiri mukiro kino n’ebirungi ebiriwo oluvannyuma lw’akyo , era n’ewogoma jooli omponye obubi obuyinza okubeera mukiro kino n’obubi obuyinza okubaawo oluvannyuma lwakyo) .

4

((ALLAHUMMA BIKA ASW-BAHNAA , WABIKA AM-SAINAA , WABIKA NAHYAA , WABIKA NAMUUTU WA-ILAIKA NNUSHUUR)). Amakulu : (Ayi Allah tubukeesezza kulw’obuyinzabwo , era tubuwungeeza kulw’obuyinzabwo , netubeera balamu kulw’obuyinzabwo era tufa kulw’obuyinzabwo nejooli yeri obuddo). NB. Edduwa eno bwetyo bwesomebwa kumakya , naye olweggulo osoma bwoti : ((ALLAHUMMA BIKA AM-SAINAA , WABlKA ASW-BAHNAA, WABIKA NAHYAA , WABIKA NAMUUTU WA-ILAIKAL-MASWIIR )) . Amakulu : (Ayi Allah tubuwungeeza kululwo era Tubukeesa kululwo , era tubeera balamu kulwobuyinzabwo ,era tufa kulwobuyinzabwo , nejooli yeri obuddo).

5

(( ALLAHUMMA ANTA RABBI! LAA ILAAHA ILLA ANTA , KHALAQTANII WA- ANA ABDUKA , WA-ANA ALAA AH-DIKA WAWA-ADIKA MASTATWA-ATU , AUUZHU BIKA MIN SHARRI MAA SWANA-ATU . ABUU-U LAKA BINI-AMATIKA ALAYYA. WA ABUU-U BIZHANBII FAGHFIRLII FA-INNAHU LA YAGHFIRU ZZHUNUUBA ILLA ANTA )) . Amakulu : (Ayi Allah ggwe mulezi wange teri asinzibwa mubutuufu okujjako ggwe , gwe wantonda era nze ndi mudduwo , nkolera kumatekago era kundagaano yo ekigero kyensobola , newogoma jooli omponye obubi bwebyo byenkola , nzikiriza ebyengerabyo byonna byompa , era nzikiriza nti ndi mw’onoonyi nsaba onsonyiwe , kuba mazima teriiyo asonyiwa by’onoono okujjako ggwe).

6

(( ALLAHUMMA INNII ASW-BAHTU USH-HIDUKA WA-USH-HIDU HAMALATA ARSHIKA , WAMALAA-IKATAKA WAJAMII- A KHALIQIKA , ANNAKA ANTA LLAHU , LAA ILAAHA ILLA ANTA WAHDAKA LAA SHARIIKA LAKA . WA-ANNA MUHAMMADA ABDUKA WARASUULUKA )) *4 Amakulu : (Ayi Allah mazima mbuk’esezza nga nkujuljra era nenjulira nebamalaika abasitudde namulondoyo nebamaikabo bonna , nenjulira ebitondebyo byonna nti mazima ggwe, gwe Allah, teri asinzibwa mubutuufu okujjako ggwe nnamunigina , tewali kikw’egattako , era mazima Muhammad mudduwo era mubakawo). NB. Edduwa eno bw’etyo bwesomebwa kumakya , naye olweggulo ekigambo ekiriko akasaze tokisoma , osoma kino: (.. AMSAITU ...). Amakulu : (... Mbuwungeezezza ...). Edduwa eno ojiddamu emirundi ena (4) , era nabbi yagamba nti omuntu ajisoma emirundi ena kumakya n’olweggulo Allah amwejjeereza omuliro.

7

(( ALLAHUMMA MAA ASW-BAHA BII MIN NI-AMATIN AUBI-AHADIN MINI KHALQIKA FAMINKA WAHDAKA LAA SHARIIKA LAKA , FALAKAL-HAMDU WALAKA ASSHUKUR)) . Amakulu : (Ayi Allah ebyengera byenkesezza nga nnina oba omuntu yenna mubitondebyo byalina biva jooli wekka teri kikw’egattako , n’olw’ekyo olina okutendebwa era olina 0kw’ebazibwa). Edduwa eno bweetyo bwesomebwa kumakya , naye olweggulo ekigambo ekiriko akasaze wansi tokisoma , osoma kino : ( ...MAA AM-SAA BII...) Omuntu bwajoogera edduwa eno kumakya aba amaze okwebaza kw’olunaku olwo , era bw’akikola olweggulo aba amaze okwebaza okwekiro ekyo .

8

(( ALLAHUMMA AAFINII FII BADANII . ALLAHUMMA AAFINII FII SAM-II , ALLAHUMMA AFINII Fll BASWARII , LAA ILAAHA ILLA ANTA , ALLAHUMMA INNII AUUZHU BIKA MINAL—KUFR WAL-FAQR , WA~AUUZHU BIKA MIN AZHAABIL—QABR , LAA ILAAHA ILLA ANTA )) 3 Amakulu : (Ayi Allah nkusaba ompe obulamu mumubiri gwange , Ayi Allah mpa obulamu mumatu gange , Ayi Allah mpa obulamu mumaaso gange , teri asinzibwa mubutuufu okujjako ggwe , Ayi Allah mazima n’ewogoma jooli omponye obujeemu n’obwaavu , era newogoma jooli omponye ebibonerezo by’omuntaana , teri asinzibwa mubutuufu okujjako ggwe) . NB. Edduwa eno eddibwaamu emirundi esatu (3) .

9

(( HASBIYA LLAHU LAA ILAAHA ILLA HUWA ALAIHI TAWAKKALTU WAHUWA RABBUL—ARSHl L-AZWIIM )) *7. Amakulu : (Allah ammala teri asinzibwa mubutuufu okujjako yye , gwenesigamidde era yemulezi wa nnamulondo engulumivu) . NB. Edduwa eno esomebwa emirundi musanvu (7). Nabbi yagamba nti : omuntu bwagisoma emirundi musanvu kumakya n’olweggulo bwatyo , Allah amumalira ebyo byonna ebimuwankanyawankanya munsonga zensi n’enkomerero .

10

« ALLAHUMMA INNII AS-ALUKAL- AF WA WAL-AAFIYATA FII DDUNIYAA WAL- AAKHIRA . ALLAHUMMA INNII AS-ALUKAL- AF-WA WAL-AAFIYATA FII DIINII WADUNIYAAYA WA-AHALII , WAMAALII . ALLAHUMMA USTUR AURAATII , WA- AAMIN RUU-AATII , ALLAHUMMA lHFAZW- NII MIN BAINI YADAYYA WAMIN KHALFII , WA-AN YAMIINII , WA-AN SHIMAALII . WAMIN FAUQII . WA-AUUZHU Bl- AZWAMATIKA ANI UGH-TAALA MIN TAH-TII)). Amakulu : (Ayi Allah mazima nkusaba okusonyiyibwa n’obulamu obulungi kuno kunsi nekunkomerero, Ayi Allah mazima nkusaba okusonyiyibwa n’obulamu obulungi muddiini yange nekunsi yange nemubantu bange nemummaali yange , Ayi Allah nkusaba obikkirire obumogo bwange era ojjewo okutya kwange , Ayi Allah nkusaba onkuume mumaaso gauge , n’okuva emabega wange , n’okuva kuddyo wange n’okuva kukkono wange , era onkuume okuva waggulu wange ,era n’ewogoma mukitiibwa kyo mpone okutemulwa nga nviibwa wansi wange) .

11

(( ALLAHUMMA AALIMAL-GHAIBI WASSHAADAH , FAATWIRA SSAMAAWAATI WAL-ARDHI . RABBA KULLI SHAY-IN WAMALIIKAHU , ASH-HADU AN LAA ILAAHA ILLA ANTA . AUUZHU BIKA MIN SHARRI NAFSII . WAMIN SHARRI SSHAITWAANI WASHIRIKIHI , WA AN AQ- TARIFA ALA NAFSII SUU-AN , AW AJURRAHU ILA MUSLIM )) . Amakulu : (Ayi Allah omurnanyi webyekwese n’ebirabika , omutonzi weggulu nensi , omulezi w’abuli kintu era omufuzi wabyo , nkakasa nti teri kisinzibwa mubutuufu okujjako ggwe , n’ewogoma jooli omponye obubi bw’omwoyo gwange , n’obubi bwasitaani n’ekibinja kyayo , era omponye okukola ekibi ekinkosa oba ekikosa omusiraamu yenna) .

12

((BISMI LLAH LLADHII LAA YADHURRU MA-ASMIHI SHAYI-UN FIL- ARDHI WALAA FII SSAMAA-I WAHUWA SSAMII-UL-ALIIM )) Amakulu: (Nsooka n’erinnya lya Allah oyo ekintu kyonna tekiyinza kukosa wamu n’erinnyalye , kekibeere munsi wadde muggulu , era Allah oyo y’asinga okuwulira n’okumanya) . NB. Omuntu ayogera ebigambo ebyo emirundi esatu kumakya n’olweggulo tewabaawo kintu kyonna kimukosa .

13

(( RADHIITU BILIAHI RABBA , WABIL- ISLAAMI DIINA , WABIMUHAMMADIN — Swalla llahu alaihi wasallam — NABIYYA )). Amakulu : (Nsiimye Allah okuba omulezi wange , Nensiima obusiraamu okuba eddiini yange , Era nensiima Muhammadi — Allah asse kuye ebyengera nemirembe — nga ye Nabbi wange) . NB. Omuntu ayogera ebigambo ebyo emirundi esatu kumakya n’olweggulo , kiba kikakase ku Allah okumusiima kulunaku lwenkomerero .

14

(( YAA HAYYU YAA QAYYUUMU BIRAHMATIKA ASTAGHIITHU ASW-LIH LII SHA-ANII KULLAHU WALAA TAKIL-NII ILA NAFSII TWARFATA AINI )) . Amakulu : (Owange ggwe omulamu , owange ggwe eyeyimirizaawo , kulw’okusaasirakwo nsaba okutaasibwa n’okuyambibwa , nnongoseza embeera yange yonna , era tonjabulira wadde olutemya lw’eriiso).

15

(( ASW-BAHNAA WA ASW-BAHAL- MULKU LILLAHI RABBAL-ALAAMIIN , ALLAHUMMA INNII AS-ALUKA KHAIRA HADHAL-YAUM. FAT-HAHU WANASW- RAHU WANUURAHU WABARAKATAHU WAHUDAAHU . WA A-UUZHU BIKA MIN SHARRI MAA FIIHI WASHARRI MAA BAADAH )) . Amakulu : (Tubukesezza era obufuzi nebukera nga bwa Allah omulezi webitonde byonna , Ayi Allah mazima nze nkusaba ebirungi eby’olunaku luno Okuwangula kw’alwo , n’okutaasibwa kw’alwo , n’ekitangaala kyalwo , n’emikisa jaalwo , n’obulungamu bw’alwo , era n’ewogoma jooli omponye obubi obululimu n’obubi obuliwo oluvannyuma lw’alwo) . NB. Edduwa eno bw’etyo bwesomebwa kumakya . naye olweggulo esomebwa bweti : (( AMSAINAA WA AMSAAL-MULKU LILLAHI RABBlL-AALAMIIN , ALLAHUMMA INNI AS- ALUKA KHAIRA HAZHIHI LLAILATI FAT- HAHA WANASW-RAHA WANUURAHA . WABARAKATAHA . WAHUDAAHA . WA A- UUZHU BIKA MIN SHARRI MAA FIIHA WA SHARRI MAA BA-ADAHA )) .

16

(( ASW-BAHNAA ALA FlTW-RATIL- ISLAAMI WA ALAA KALIMATII.-IKHLAASW WA ALAA DIINI NABIYYINAA MUHAMMAD —Swala llahu alaihi wasa1lam- WA ALAA MILLATI ABIINAA IBRAAHIIM HANIIFAN MUSLIMAN WAMAA KAANA MINAL-MUSH-RIKIIN)) . Amakulu: (Tubukeesezza nga tuli kububumbwa bw’obusiraamu , era nga tuli kukigambo ky’obumalirivu , era kuddiini ya nabbi waffe Muhammad — Allah asse kuye ebyengera n’emirembe - era nga tuli kunzikiriza ya taata waffe Ibraahiim , yali awakanyiza ddala byonna ebikyaamu nga mujeemulukufu era teyaliiko mubagatta Allah n’ebirala) . NB. Edduwa eno bw’etyo bwesomebwa kumakya . naye olweggulo ekigambo ekiriko akasaze tokisoma , osoma kino : (( AMSAINAA ........ ..)) . Amakulu : (Tubuwungeezezza......... ..) .

17

(SUBHAANA LLAHI WABIHAMDIH) * I00 Amakulu : (Allah yayawukana n’amatendoge kubitonde byonna) !! NB. Edduwa eno esomebwa emirundi (100). Omuntu bw’ajisoma kumakya emirundi kikumi n’olweggulo bw’atyo kulunaku lwenkomerero tegenda kubeerayo amusinga mpeera , okujjako eyakola nga yye bweyakola oba n’asinzaawo.

18

(( LAA ILAAHA ILLA LLAH WAHDAHU LAA SHARIIKA LAHU , LAHUL-MULK WALAHUL-HAMDU , WAHUWA ALAA KULLI SHAY-IN QADlIR)) * l0 Amakulu : (Teri asinzibwa mubutuufu okujjako Allah , yeyekka , talina kimw’egattako , obufuzi bwonna bubwe , n’amatendo amalungi gonna gage , era yye muyinza kubuli kimu) . NB. Edduwa eno esomebwa emirundi kkumi oba omulundi gumu mubugayaavu.

19

(Edduwa eno ewandiikiddwa era n’evunnulwa ku dduwa No. 92 , naye wano singa omuntu ajisoma kumakya emirundi kikumi (100) awandiikirwa empeera eyenkana n’okuta abantu kkumi n’abawonya obuddu , n’awandiikirwa ebirungi kikumi , n’asangulwaako ebibi kikumi , era n’akumibwa okuwona obubi bwa sitaani olunaku lwonna okutuusa lwebuwungeera , era kulunaku lwenkomerero tegenda kubeerayo amusinga okujjako eyakola nga yye n’amusinga nako) .

20

(( SUB-HAANA LLAHI WABIHAMDIHI : ADADA KHALQIHI , WARIDHA NAFSIHI , WAZINATA ARSHIHI WAMIDAADA KALIMAATIH )) . *3 Amakulu: (Allah Yayawukana n’amatendo ge (kubitonde byonna)! ! omuwendo ogwenkanakana n’ebitondebye , era nga okusiimakwe jekukoma , n’okuwundibwa kwannamulondoye nga bwekuli , nebwiino eyawandiika ebigambo bye nga bweyenkana) . NB. Edduwa eno eddibwaamu emjrundi esatu kumakya .

21

Edduwa eno ewandikiddwa era nevvuunulwa kudduwa No.73 . NB. Edduwa eno esomebwa kumakya.

22

(( ASTAGHFIRU LLAHA WA ATUUBU lLAIHl)) *l00. Amakulu : (Nsaba Allah onsonyiwe ,era n’enenya jooli) . NB. Edduwa eno esomebwa emirundi kikumi (100) buli lunaku .

23

(( ALLAHUMMA SWALLI WASALLIM ALA NABIYYINAA MUHAMMAD )) *10 . Amakulu : (Ayi Allah nkusaba osse ebyengera n’emirembe ku Nabbi waffe Muhammadi). NB. Edduwa eno esomebwa emirundi kkumi (10) kumakya n’olweggulo . omuntu bw’ajisoma bwatyo agenda kufuna okuwolerezebwa kwa Nabbi Muhammad (S.A.W) kulunaku lwenkomerero.

Zaker copied