EDDUWA ESOMEBWA NGA OSABA OKUKUSALIRAWO EKIRUNGI.

1

Jaaber bin Abdallah — okusiima kwa Allah kube kubombiriri yagamba nti : Yali omubaka wa Allah — Allah asse kuye ebyengera n’emirembe — nga atuyigiriza edduwa y’okusaba okukusalirawo ekirungi munsonga zonna , naye nga alinga atuyigiriza essuula okuva mu Qur’an entukuvu , yagamba bwati : (Omu kummwe bwawankirawankiranga kunsonga yonna asaalengayo eraakah bbiri ezitali zatteeka , oluvannyuma agambe bwati : (( ALLAHUMMA INNII ASTAKHIIRUKA Bl- ILMIKA , WA-ASTAQDIRUKA BIQUDRATIKA , WA-AS-ALIKA MIN FADHILIKAL-AZWIIM FA-INNAKA TAQDIRU WALAA AQ-DIRU WATA-ALAMU WALAA A-ALAMU WA-ANTA ALLAAMUL-GHUYUUB . ALLAHUMMA IN- KUNTA TA-ALAM ANAA HAZHAL-AMURA — wano oyogera ens0ga- KHAIRU LLII FII DIINII WAMA-AASHII WA—AAQIBATI AMRII AAJILIHI WA-AAJILIHI FAQDIR-HU LII WAYASSIR-HU LII THUMMA BAARIK LII FIIHI , WA-IN KUNTA TA-ALAMU ANNA HAZHAL-AMURA SHARRU LLII FII DIINII WAMA-AASHII WA-AAQIBATI AMRII AAJILIHI WA-AAJILIHI FASW-RIF-HU ANNII WASW-RIF-NII ANHU WAQDIRU LIYAL- KHAIRA HAITHU KAANA THUMMA ARDHINII BIH )). Amakulu : (Ayi Allah mazima nkusaba onsalirewo ekirungi mukumanyakwo , ongerere ekirungi mukugerakwo , nenkusaba ongabire mubirungibyo ebingi , kuba mazima gwe asobola nze sisobola , era gwe omanyi nze simanyi, ggwe omumanyi webitalabika , Ayi Allah bw’oba omanyi nga ensonga eno (ojoogereko) njirinamu obulungi muddiini yange nemubuwangaazi bwange nekunkomerero wensonga yange eno , kunsi nekulunaku lwe nkomerero nkusaba ojingerere era ojinnyanguyize oluvannyuma ojinteekeremu omukisa , naye bw’oba omanyi nti ensonga eno mbi jendi muddiini yange nemubuwangazi bwange nekunkomerero yensonga yange eno kunsi nekulunaku lwe nkomerero nkusaba ojinnesambye era nange ojinneewaze , era ongerere ekirungi wonna wekinabeera nkifune era onsiimye nakyo) . Tayinza kwejjusa omuntu asaba Allah okumusalirawo ekirungi , era neyebuuza kubakkiriza , era neyekkenneenya ensonga ye . Allah yagamba mu Qur’an eyekitiibwa nti : ( Webuuze kubakkiriza kunsonga jooba oliko , bw’oba nga omaliridde okukola ky’oba osazeewo kikole nga wesigamidde eri Allah ) . 3 : 159 .

Zaker copied