OKUTENDEREZA OLUVANNYUMA LWA SSALAAM EY’OKUVA MU SSWALA H .

1

(( AS-TAGHFIRU LLAH (*3) ALLAHUMMA ANTA SSALAAM . WAMINKA SSALAAM . TABAARAKTA YAA ZHAL- JALAALJ WAL-IKRAAM )) . Amakulu : (Nsaba Allah ansonyiwe (emirundi esatu) Ayi Allah ggwe mirembe , era emirembe giva jooli , (omulezi waffe) wajjula emikisa , ggwe nannyini kitiibwa n’okugulumira) .

2

(( LAA ILAAHA ILLA LLAHU WAHDAHU LAA SHARIIKA LAHU LAHUL- MULKU WALAHU-HAMDU WAHUWA ALAA KULLI SHAY-IN QADIIR , ALLAHUMMA LAA MAANI-A LIMAA AATWAITA WALAA MUUTWIYA LIMA MANA-ATA WALAA YANFA-U ZHAL-JADDI MINKAL-JADD )) . Amakulu : (Tewali kisinzibwa kumazima okujjako Allah yekka talina kimw’egattako , obufuzi bwonna bubwe n’amatendo gonna amalungi gage , era yye kubuli kimu muyinza . Ayi Allah tewali aziyiza ekyo ky’oba ogabye , era teri agaba ekyo ky’oziyizza , era omuntu ow’ekitiibwa tekiyinza kumugasa ekitiibwakye mumaasogo (awatali mirimuje) .

3

(( LAA ILAAHA ILLA LLAH WAHDAHU LAA SHARIIKA LAHU LAHUL-MULKU WALAHUL-HAMDU WAHUWA ALAA KULLI SHAY-IN QADIIR , LAA HAULA WALAA QUWWATA ILLA BILLAH . LAA ILAAHA ILLA LLAH , WALAA NA-ABUDU ILLA IYYAAHU , LAHU NNI-IMATU WALAHUL— FADHILU WALAHU TTHANAA—UL-HASAN . LAA ILAAHA ILLA LLAHU MUKHLISWIINA LAHU DDIINA WALAW KARIHAL- KAAFIRUUN)) Amakulu: (Tewali asinzibwa mubutuufu okujjako Allah yekka , talina kimwegattako , obufuzi bubwe , n’amatendo gonna amalungi gage ,era yye kubuli kimu muyinza , tewali busobozi wadde amaanyi wabula bibeerawo nakw’agala kwa Allah , teri asinzibwa kumazima okujjako Allah , era tetulina gwetusinza okujjako yye , era ebyengera byonna bibye n’ebirungi byonna bibye , era n’okusuutibwa okulungi kwonna kukwe , teri asinzibwa mubutuufu okujjako Allah , yekka gwetulongoseza eddiini n’okusinza newankubadde abatakkiriza bakitamwa) .

4

(( SUBHAANA LLAH . WAL-HAMDU LILLAH , WALLAHU AKBAR *33 . LAA ILAAHA ILLA LLAHU WAHDAHU LAA SHARIIKA LAHU , LAHUL-MULKU WALAHUL-HAMDU . WAHUWA ALA KULLI SHAY—IN QADIIR)) . Amakulu : (Allah wanjawulonnyo , n’amatendo amalungi gonna ga Allah Allah munene nnyo *33 , tewali asinzibwa mubutuufu okujjako Allah yekka talina kimw’egattako , bubwe obufuzi n‘amatendo gonna amalungi gage , era yye kubuli kimu muyinza) .

5

BISMI LLAHI RRAHMAANI RRAHIIM. (( QUL HUWA LLAHU AHAD . ALLAHU SSWAMAD . LAM YALID . WALAM YUULAD . WALAM YAKUN LAHU KUFUWAN AHAD )) (( QUL AUUZHU BIRABBIL-FALAQ . MIN SHARRI MAA KHALAQ . WAMIN SHARRI GHAASIQIN IZHAA WAQAB . WAMIN SHARRI NNAFFAATHAATI FIL-UQAD . WAMIN SHARRI HAASIDIN IZHAA HASAD )) (( QUL AUUZHU BIRABBI NNAAS , MALIK NNAAS ILAAHI NNAAS MIN SHARRIL-WAS- WAASIL-KHANNASS . ALLAZHI YUWAS- WISU FII SWUDUURI NNAAS . NlNAL- JINNATI WANNAAS )) . NB. Essuula zino zisomebwa buli luvannyuma lwa sswala . Amakulu 1 : (Kulw’elinnya lya Allah omusaasizi owekisa ekingi :- (Gamba nti yye Allah ali omu , Allah yeyesigamirwaako , teyazaala era teyazaalibwa era talina kintu kimwenkanakana nakimu) . Amakulu 2: (Gamba nti newogoma eri Allah omulezi w’amakya , okuva mububi bw’ebintu byeyatonda . nemububi bw’ekiro bwekiba kikutte . nemububi bweddogo ely’omubifundikwa Nemububi bw’owensaalwa bwaba ajikoze ). Amakulu 3: (Gamba nti newogoma eri Allah omulezi w’abantu . kabaka w’abantu . katonda w’abantu . okuwona obubi bw’omulabankanya eyekwese . oyo alabankanya mubifuba by’abantu Abeera mumajinni nemubantu) .

6

((ALLAHU LAA ILAAHA ILLA HUWAL- HAYYUL-QAYYUUM , LAA TA-AKHUZHUHU SINATUN WALAA NAUMU , LAHU MAA FII SSAMAAWAATI WAMAA FIL-ARDHI , MAN ZHA LLAZHII YASHIFA-U INDAHU ILLA BIIZHJNIH , YA-ALAM MAA BAINA AIDIIHIM WAMAA KHALFAHUM , WALAA YUHIITWUUNA BISHAY-[N MIN IL-MIHI ILLA BIMAA SHAA-A WASI-A KURSIYYUHU SSAMAAWATI WAL-ARDHA WALAA YAUUDUHU HIFZWUHUMAA , WAHUWAL- ALIYYUL-AZWI[M)). NB. Esomebwa kubuli nkomerero ya sswala. Amakulu : (Allah tewali katonda asinzibwa mubutuufu okujjako yye , omulamu eyeyimirizaawo , takwatibwa tulo wadde okusumagira , bibye ebiri muggulu nebyo ebiri munsi , ani oyo awolereza mumaasoge !! okujjako nga amukkiriza ! , amanyi ebyo ebiri mumaaso gabwe , n’emabega wabwe era tewali betantala kumanya kintu kyonna mubyekwese okujjako kyaaba ayagadde , Namulondoye ngazi nnyo okusinga eggulu nensi era tebimuzitoowerera kubikuuma byombiriri , era yewawaggulu ennyo (era) omugulumivu) .

7

((LAA ILAAHA ILLA LLAHU WAHDAHU LAA SHARIIKA LAHU , LAHUL-MULKU WALAHUL-HAMDU YUHYII WAYUMIITU WAHUWA ALA KULLI SHAY-IN QADIIR)) *10 NB. Esomebwa buli luvannyuma lwa sswala eya Magrib ne Fajr . Amakuluz (Tewali asinzibwa mubutuufu okujjako Allah yekka , teri kimwegattako , obufuzi bubwe bwonna namatendo amalungi gonna gage , yalamusa era y’afiisa era yye muyinza kubuli kimu) .

8

(( ALLAHUMMA INNII AS-ALUKA IL- MAN NAAFI-AN , WARIZQAN TWAYYIBAN , WA-AMALAN MUTAQABBALA )) . NB. Esomebwa luvannyuma lwa sswala ya Fjr. Amakulu: (Ayi Allah mazima nkusaba ompe okumanya okugasa , n’ebyenfuna ebirungi , n’emirimu ejikkirizibwa) .

Zaker copied