(( ALLAHUMMA INNII AUUZHU BIKA MINI AZHAABIL-QABR , WAMINI AZHAABI JAHANNAM , WAMIN FIT-NATIL-MAHYAA WAL-MAMAAT , WAMIN SHARRI FITNATIL- MASIIHI DDAJJAAL)). Amakulu : (Ayi Allah mazima nze ne’wogoma jooli omponye ebibonerezo by’omuntaana , n’ebibonerezo by’omuliro Jahannama , era omponye okukemebwa kw’omubulamu nemukufa , era omponye obubi bw’okukemebwa kwa Masiihj Ddajjaali).
((ALLAHUMMA INNII AUUZHU BIKA MINI AZHAABIL-QABR, WA AUUZHU BIKA MIN FITNATIL-MASIIHI DDAJJAL , WA AUUZHU BIKA MIN FITNATIL-MAHYAA WAL-MAMAAT. ALLAHUMMA INNI AUUZHU BIKA MINAL-MA-ATHAMI WAL- MAGH-RAM)). Amakulu : (Ayi Allah mazima nze n’ewogoma jooli omponye ebibonerezo by’omuntaana , era n’ewogoma jooli omponye okukemebwa kwa Masiihi Ddajjaali , era newogoma jooli omponye okukemebwa kw’omubu1amu nemukufa . Ayi Allah mazima nze n’ewogoma jooli omponye okw’onoona , omponye n’amabanja).
(( ALLAHUMMA INNI ZWALAM-TU NAF-SII ZWUL-MAN KATHIIRAN , WALAA YAGH-FIRU ZZHUNUUBA ILLA ANTA , FAGH-FIR LII MAGH-FIRATA MMINI INDIKA WAR-HAM Nll INNAKA ANTAL-GHAFUURU RRAHIIM)). Amakulu : (Ayi Allah mazima ndyaazamanyizza nnyo omw’oyo gwange , wabula teriiyo asonyiwa by’onoono okujjako ggwe , kale nkusaba onsonyiwe olusonyiwa okuva jooli era onsaasire , mazima gwe omusonyiyi omusaasizi ennyo).
(( ALLAHUMMA IGH-FIR LII MAA QADDAM-TU , WAMAA AKKHAR-TU , WAMAA ASRAR-TU , WAMAA AALAN-TU , WAMAA ASRAFTU , WAMAA ANTA AALAMU BIBI MINNII ANTAL-MUQADDIMU WA-ANTAL-MU-AKKHIRU LAA ILAAHA ILLA ANTA)). Amakulu : (Ayi Allah nkusaba onsonyiwe ebibi byange byenakulembeza n’eby’oluvannyuma , nebyenakola munkukutu , nebyenakola mulujjudde , n’ebyo byenadiibuuda , nebyo by’omanyi okunsinga , gwe eyakulembera era gwe ow’oluvannyuma , tewali asinzibwa mubutuufu okujjako ggwe) .
((ALLAHUMMA AINNII ALA ZHIKRIKA ,WASHUKRIKA, WAHUSN IBAADATIK )). Amakulu : (Ayi Allah nkusaba onnyambe mbeere nga nkujjujira n’okukwogerako , era nsobole okukwebaza , n’okubeera nga nnongoosa okukusinza) .
(( ALLAHUMMA INNII AUUZHU BIKA MINAL-BUKH-Ll , WA-AUUZHU BIKA MINAL-JUBNI . WA-AUUZHU BIKA MINI ANI URADDA ILAA ARZHALIL-UMURI . WA- AUUZHU BIKA MIN FTFNATIL-DDUNIYA WA AZHAABIL-QABR )). Amakulu : (Ayi Allah mazima n’ewogoma jooli omponye obukodo , n’obutiitiizi , era n’ewogoma jooli omponye okuzzibwaayo kubuwangaazi obubi obunyoomwa , era n’ewogoma jooli omponye ebikemo byensi nebibonerezo by’omuntaana) .
(( ALLAHUMA INNI AS-ALUKAL- JANNATA WA—AUUZHU BIKA MINA NNAAR) Amakulu : (Ayi Allah mazima nkusaba ompe ejjana (Ennyumba ey’emirembe) era n’ewogoma jooli omponye omuliro) .
((ALLAHUMMA Bl-ILMIKAL-GHAIBA WAQUDRATIKA ALAL-KHALQI , AHYINII MAA ALIMTAL-HAYAATA KHAIRA LLI1. WATAWAFFAA-NII IZHAA ALIMTAL- WAFAATA KHAIRA LLII . ALLAHUMMA INNI AS-ALUKA KHASH-YATAKA FIL- GHAIBI WASSHAHAADAT , WA AS-ALUKA QALIMATAKAL-HAQQI FI RRIDHAA WAL- GADHABI . WA AS-ALUKAL-QASW-DA FIL- GHINAA WAL-FAQR , WA AS-ALUKA NAIIMA LLAA YANFADU , WA AS-ALUKA QURRATA AINI LLAA TANQATWI-U , WA AS-ALUKA RRIDHAA BAADAL-QADHAAI , WA AS-ALUKA BARDAL-AISHI BAADAL- MAUTI , WA AS-ALUKA LAZZATA NNAZHWARI ILAA WAJI-HIKA WASSHAUKA ILAA LIQAAIKA FII GHAIRI DHARRA-A MUDHIRRATIN WALAA FITINATIN MUDHILLAT . ALLAHUMA ZAYYINAA BlZIINATlL— IMAANI WAJ-ALNAA HUDAATA MMUH-TADIIN )). Amakulu : (Ayi Allah kulw’okumanyakwo ebyekwese , nekulw’obuyinzabwo kubitonde nkusaba ompe obulamu singa omanya nti obulamu bwebulungi jendi , onfiise bw’oba omanyi nti okufa kyekirungi jendi , Ayi Allah nkusaba ongabire okukutya munkiso nemulwatu , era nkusaba ompe ekigambo eky’amazima mukusiima nemukunyiiga , era nkusaba ompe obwenkanya mubugagga nemubwavu , era nkusaba ompe ebyengera ebitaggw’awo , era nkusaba ompe obukkakkamu obw’amaaso obutakutukawo , nenkusaba nate ompe okusiima oluvannyuma lw’okugererwa ,nkusaba nate ongabire obulamu obulungi oluvannyuma lw’okufa , nate nenkusaba ongabire obuwoomu bw’okutunulako mukyenyikyo n’okwegomba okukusisinkana nga ndi mumbeera etakosa wadde ekikemo n’ekyewundo ky’obukkiriza era otufuule abalungamya abalungamu) .
(( ALLAHUMMA lNNll AS-ALUKA YAA ALLAHU Bl-ANNAKAL-WAAHIDUL-AHADU SSAMADU LLAZHII LAM YALID WALAM YUULAD WALAM YAKUN LAHU KUFUWAN AHAD , ANI TAGH-FIRA LII ZHUNUUBII INNAKA ANTAL- GHAFUURU RRAHIIM )) . Amakulu : (Ayi Allah mazima nze nkusaba ggwe Allah kuba ggwe omu namunigina ayesigamirwaako , gwe atazaala era ataazaalibwa , era atalina kintu kikwenkakanankana , obeere nga onsonyiwa eby’onoono byange , mazima gwe omusonyiyi omusaasizi)