(( SUBHAANA RABBIY AL-AALA)). Amakulu: (Omulezi wange oyo ow’awaggulu ennyo yayawukana (kubitonde)) emirundi esatu.
(( SUBHAANAKA ALLAHUMMA RABBANAA WABIHAMDIKA ALLAHUMMA IGH-FIR LII )) . Amakulu: (Ayi Allah omulezi waffe , wayawukana namatendogo amalungi , Ayi Allah nkusaba onsonyiwe) .
(( SUBBUUHUN QUDDUUSUN RABBUL-MALAAIKATI WARRUUHU )) . Amakulu: (Allah ggwe atenderezebwa ennyo , omutukuvu , omulezi wamalayika nemwooyo mutukuvu Jibriil) .
(( ALLAHUMMA LAKA SAJAD-TU WABIKA AAMANTU , WALAKA ASLAMTU , SAJADA WAJ-HII LILLAZHII KHALAQAHU , WASWAWWARAHU , WASHAQQA SAM-AHU WABASWARAHU , TABAARAKA LLAAHU AHSANAL-KHAALIQIIN)). Amakulu: (Ayi Allah nvunnamye kululwo era ggwe gwenzikiriza , era ggwe gwenjeemulukukidde , ekyenyi kyange kivunnamye kulw’oyo eyakikola , n’akiwa ekifaananyi kyekirimu , n’akiteekako amaaso n’amatu , Allah yagulumira nnyo okusinga abawumbi bonna).
(( SUBHAANA ZHIL-JABARUUTI WAL- MALAKUUTI WAL-KIBRIYAA-I WAL- AZHWAMAH )) Amakulu: (Allah oyo nannyini kukaka , n’obufuzi , era nannyini kw’ekuza n’ekitiibwa nga wanjawulo nnyo) !!
(( ALLAHUMMA IGHFIR LII ZHAN-BII KULLAHU DIQQAHU WAJILLAHU , WA- AWWALAHU WA-AAKHIRAHU . WAL- ALAANIYATAHU WASIRRAHU )). Amakulu : (Ayi Allah nkusaba onsonyiwe ebibi byange byonna ebitono n’ebinene , eby’asooka n’ebyoluvannyuma , eby’o1waatu n’ebyenkiso) .
(( ALLAHUMMA INNII AUUZHU BIRIDHAAKA MIN SAKHATWIKA WABIMU- AAFAATIKA MIN UQUUBATIKA . WA- AUUZHU BIKA MINKA , LAA OH-SWII THANAA-AN ALAIKA , ANTA KAMAA ATHNAITA ALAA NAF~SIKA )) . Amakulu : (Ayi Allah mazima nze n’ewogoma eri okusiimakwo mpone obusungubwo , nen‘ewogoma eri okusonyiwakwo kumponye okubonerezakwo , era n’ewogoma jooli okukuwona . sisobola kumalayo kukusuuta nakukutendereza nga ggwe bwew’esuuta kennyini) .