ENTENDEREZA Z’OKWAZIINA

1

(Awulidde okwaaziina addamu ebyo omw’aziinyi by’ayogera nga ayaziina, okujjako omw’aziinyi nga atuuse kukigambo (HAYYAA ALA SSWALA) ne (HAYYA ALAL-FALAAH) Awo ayogera bino (LAA HAWLA WALAA QUWWATA ILLA BILLAH ) . Amakulu: (Tewali busobozi wadde amaanyi wabula bibeerawo nakw’agala kwa Allah).

2

(( WA-ANA ASH-HADU ANLAA ILAAHL ILLA LLAHU WAHDAHU LAA SHARIIKA LAHU , WA ANNA MUHAMMADA ABDUHU WARASUULUH , RADHIITU BILLAHI RABBAN , WABIMUHAMMADIN RASUULAN , WABIL-ISLAAMI DIINAN )) . Amakulu : (Nange nkakasa nti tewali asinzibwa mubutuufi1 okujjako Allah yekka , talina kimw’egattako , era nenkakasa nti mazima Muhammadi muduuwe era mubaka we , nasiima Allah nga yemulezi wange , ne Muhammad nga ye mubaka wange , n’obusiraamu nga yeddiini yange) . Ebigambo ebyo aby’ogera nga omw’aziinyi amaze okusoma ekigambo : (ASH-HADU ANNA MUHAMMADAN RASUULU LLA) .

3

(( ALLAHUMMA RABBA HAZHIHI ADDAAWAT TTAAMMAH , WASSWALAATIL-QAA-IMAH , AATI MUHAMMADANIL-WASIILATA WAL- FADHIILAH WAB-ATHUHU MAQAAMA MMAHMUUDANI LLAZHII WA-ADTAH )) . (( INNAKA LAA TUKH-LIFUL-MII-AAD )) . Amakulu : (Ayi Allah ggwe nannyini kuk’owoola kuno okujjuvu , neswsala eno ey’olubeerera , nkusaba owe nabbi Mhammad (s.a.w) ekifo eky’awaggulu era ekyenkizo kubalala , era nkusaba omuzuukize nga ali mukifo ekyettendo ekyo kyewamulagaanyisa) , (Mazima ggwe toyawukana kundagaano) .

4

(( Oluvannyuma 1w’okusabira nabbi (s.a.w) y’esabira mukiseera ekini wakati w’okwaaziina n’okukima esswala , kubanga okusaba okwo kwanukulwa )) .

5

(Awulidde okw’aziina asaalira ku nabbi— swalla llahu alaihi wasa1lam— oluvannyuma lw’omwaziinyi okumaliriza okwaziina nga bwekuli mu No. 53 . oluvannyuma n’asoma edduwa No. 25 .

Zaker copied