267— Nnabi (S.A.W) yagamba nti : (Akawungeezi bwekatuukanga — oba bwemubuwungeezanga—— mugaanenga abaana bammwe okutambulatambula ebweeru , olw’okuba amasitaani ekiseera ekyo mwegasaasanira , ekiro bwekiyitako essaawa mubaleke , era muggalenga enziji z’amayumba nga mw’ogererako erinnya lya Allah ; olw’okuba sitaani teggula lujji olw’ogereddwaako erinnya lya Allah nga luggalwa , era musaanikirenga kubisawo byammwe (ensuwa , eccupa nabuli ekiterekerwamu kyonna) nga mw’ogererako erinnya lya Allah , era musannikirenga kubyombo byammwe nga mw’ogererako erinnya lya Allah , bwemuba mubuliddwa kyemusaanikirako wakiri muteekeko akantu konna wadde nga katono nnyo , era muzikizenga amataala gammwe nga mugenda okw’ebaka) . Tusaba Allah asse ebyengera n ’emirembe n’emikisa kunabbi waffe Muhammadi nekubantube nekubanne bonna.