OBULUNGI BW’OKUTENDEREZA ALLAH

1

Era yagamba (S.A.W) nti :- (Omuntu agamba (SUBHAANA LLAH WABIHAMDIH) emirundi kikumi asangulw’ako eby’onoonobye byonna wadde nga byenkana nejjovu ly’okunnyanja). Laba zhikir No. 91 .

2

Era yagamba (S.A.W) nti :- (Omuntu agamba nti : (LAA ILAAHA ILLA LLAHU WAHDAHU LAA SHARIIKA LAH , LAHUL-MULK , WALAHUL-HAMDU WAHUWA ALA KULLI SHAY-IN QADIIR) emirundi kkumi (10) abeeranga atadde abantu bana (4) (abaddu) mubaana ba Ismail (olulyo Nnabi mweyava) . Laba Zhikr No. 92.

3

Era yagamba (S.A.W) nti :- (Ebigambo biri bibiri byokka , byangu nnyo kululimi , ate bizitowa nnyo ku minzaani , ate by’agalwa nnyo eri Allah) byebino :- (( SUBHAANA LLAHI WABIHAMDIHI SUBHAANA LLAHIL-AZWIIM )) . Amakulu : (Allah Yayawukana n’amatendoge (kubitonde byonna era) Allah owekitiibwa wanjawulonnyo) .

4

Era yagamba (S.A.W) nti :- (Nze okw’ogera nti : (( SUBHAANA LLAH , WALHAMDU LILLAH , WALAA ILAAHA ILLA LLAH ,WALLAHU AKBAR )) . kinsingira byonna eby’akako enjuba) .

5

Era yagamba (S.A.W): (Ayinza okulemwa omu kummwe okukola n’afuna ebirungi olukumi (1000) buii lunaku ?) omu kubeyali atudde nabo kyeyava amubuuza nti : omu kuffe afuna atya ebirungi olukumi ? Nagamba nti : (Agamba nti SUBHAANA LLAH emirundi kikurni (100) n’awandiikirwa ebirungi lukumi (1000) oba n’asangulwaako ebibi lukumi).

6

Era yagamba (S.A.W) nti : (Omuntu agamba nti : (( SUBHAANA LLAHIL-AZWIIMI WABIHAMDIH )) . asimbirwa omutende Mujjanah).

7

Era yagamba (S.A.W) nti : (Owange ggwe Abdallah bin Qaisi , nkulagirire eggwanika mumawanika gejjana ?) Naddamu nti yye (ndagirira) owange ggwe omubaka wa Allah . Nnabi n’agamba nti : (Gamba nti : (( LAA HAULA WALAA QUWWATA ILLA BILLAH )) . Amakulu: (Tewali busobozi wadde amaanyi wabula bibeerawo nakwagala kwa Allah).

8

Era yagamba (S.A.W) nti : (Ebigambo ebisinga okw’aga1wa ewa Allah biri bina (4): (( SUBHAANA LLAH , ne AL-HAMDU LILLAH, ne LAA ILAAHA ILLA LLAH . ne ALLAHU AKBAR )) , tekikukosa okutandiika nakyonna kubyo) .

9

Omusajja munnaky’alo yajja eri omubaka wa Allah (S.A.W) n’amugamba nti : njigirizaayo ebigambo mby’ogerenga (nga ntendereza Allah) Nnabi (S.A.W) n’amugamba nti : (Gamba nti : (( LAA ILAAHA ILLA LLAHU WAHDAHU LAA SHARIIKA LAHU , ALLAHU AKBAR KABIIRAN , WALHAMDU LILLAHI KATHIIRAN . SUBHAANA LLAHI RABBIL- AALAMIIN , LAA HAULA WALAA QUWWATA ILLA BILLAHIL-AZlIZlL- HAKIIM)). Amakulu : (Tewali asinzibwa mubutuufu okujjako Allah yekka talina kimw’egattako , Allah munene nnyo , n’amatendo gonna amalungi ga Allah , era Allah omulezi w’ebitonde byonna wanjawulo nnyo (kubyo)! , tewabeera busobozi wadde amaanyi wabula bibeerawo kulwakwagala kwa Allah omuwanguzi omutetenkanya) . Omunnakyaalo kyava amugamba nti : Ebyo byonjigirizza by’akutendereza mulezi wange , ate ebyange by’ebiriwa? Nnabi (S.A.W) n’amugamba nti : (Gamba nti : (( ALLAHUMMA GHFIR LII , WARHAMNII , WAHDINII , WARZUQNII )) . Amakulu : (Ayi Allah (nkusaba) onsonyiwe onsaasire , onnungamye era ompe ebyenfuna).

10

Omuntu bweyayingiranga mubusiraamu Nnabi (S.A.W) yasookanga kumuyigiriza kusaala oluvannyuma n’amulagira asabenga nebigambo bino : ((ALLAHUMMA GHFIR LII , WARHAMNII , WAHDINII , WA-AAFINII , WARZUQNII )) . Amakulu : (Ayi Allah nkusaba onsonyiwe , onsaasire , onnungamye , ompe obulamu obulungi era ongabire ebyenfuna).

11

Era yagamba (S.A.W) : (Mazima edduwa esinga obulungi kugamba nti : ((A1-HAMDU ILALLAH )) n’okutendereza okusinga obulungi kwekugamba nti : (LAA ILAAHA ILLA LLAH)

12

Era yagamba (S.A.W): (Ebisigalawo ebirungi bigambo bino : (SUBHAANA LLAH) ne (AL-HAMDU LILLAH) ne (ALLAHU AKBAR) ne (LAA HAULA WALAA QUWWATA ILLA BILLAH) .

Zaker copied