Omubaka wa Allah (S.A.W) yagamba nti : (Ndayira Allah mazima nze nsaba Allah okusonyiyibwa era nenenya jaali buli lunaku emirundi ejisoba munsanvu (70) . NB. Oyogera nga bwekiri mudduwa No. 96 mukitabo kino .
Era yagamba omubaka wa Allah (S.A.W) nti : (Abange mmwe abantu mwenenye eri Allah mazima nze n’enenya jaali buli lunaku emirudi kikumi (100) . oyogera nga bwekiri mudduwa No.96 mukitabo kino .
Era omubaka wa Allah (S.A.W) yagamba nti : (Omuntu agamba nti : ( ASTAGHFIRU LLAHAL-ADHIIMA ALLAZHII LAA ILAAHA ILLA HUWAL-HAYYUL- QAYYUUM WA ATUUBU ILAIHI) Allah amusonyiwa wadde nga adduse mulutalo lwa Ddiini) . Amakulu : (Nsaba Allah ow’ekitiibwa ansonyiwe oyo awatali asinzibwa mubutuufu okujjako yye omulamu eyeeyimirizaawo era nennenya jaali) .
Era yagamba (S.A.W) nti : (Omulezi (Allah) waasingira okubeera okumpi n’omuddu by’ebiseera by’ekitundu ekisembayo eky’ekiro , kale bw’oba osobodde okubeera mw’abo ab’ogera ku Allah (nga bamutendereza) mussaawa eyo kikole)
Era yagamba (S.A.W) nti : (Omuddu bw’aba avunnamye waasingira okubeera okumpi n’omuleziwe (Allah) kale muyitirize okusaba (nga muvvunamye) .
Era yagamba (S.A.W) nti : (Mazima (ekintu) kibikka kumutima gwange ((neneerabira oluusi okutendereza ku Allah ky’ova olaba) nsaba Allah ansonyiwe buli lunaku emirundi kikumi (l00)).