238 — Nnabi (S.A.W) y’ebagala ensoloye n’atambula okutuusa okutuusa lweyatuuka mukifo eky’emizizo (emuzidalifah) n’ayolekera Kaabah n’atandika okusaba byeyeetaaga . N’amugulumiza Allah (ALLAHU AKBAR) n’amwaawula (LAA ILAAHA ILLA LLAH) n’amutongoza (LA ILAAHA ILLA LLAHU WAHDAHU LAA SHARIIKA LAH LAHUL-MULKU WALAHUL- HAMDU WAHUWA ALA KULLI SHAY-IN QADIIR). Yasigala nga ayimiridde akola ebyo , okutuusa ebuvanjuba bweyamyuukirira n’ava eMuzidalifah nga enjuba tennaba kuvaayo (n’agenda eminaa).