108— OKUSAASANYA EKIRAMUSO EKY’EMIREMBE (SSALAAM)

1

Yagamba omubaka wa Allah (S.A.W) nti : (Temugenda kuyingira Jjana okutuusa nga mumaze okukkiriza , ate temugenda kubeera bakkiriza okutuusa nga mumaze kw’agalana . Abange mbalagirire ekintu bw’emunaaba mukikoze mujja kw’agalana ? Musaasanye ekilamuso eky’emirembe (ssalaam) wakati wammwe).

2

Ammar — Allah amusiime — Yagamba nti : (Ebintu bisatu omuntu abikungaanya mazima aba akungaanyizza obukkirizan : Obwenkanya mumy’oyogwe , n’okutoolera abantu ssalaamu , n’okuwaayo mubiseera by’obweetaavu).

3

Bino byajjibwa ku Abdillah bin Umara — okusiima kwa Allah kube Kubombiriri - yagamba nti : Mazima omusajja yabuuza Nnabi (S.A.W) nti : Busiraamuki obusinga obulungi ? Nnabi (S.A.W) n’agamba nti : (Kuliisa mmere , n’okutoolera omuntu gw’omanyi ssalaamu n’oyo gw’otomanyi).

Zaker copied