OBULUNGI BW’OKUSAALIRA KUNNABI (S.A.W)

1

Nnabi (S.A.W) yagamba nti :- (Omuntu yenna ansaalira omulundi gumu , Allah amussaako emikisa n’okusaasira emirundi kkumi)

2

Era yagamba nti :- (Temufuulanga entaana yange ekijaguzo , wabula munsabire ; kuba mazima okunsabira kwammwe kuntuukako okuva wonna wemuba mubadde).

3

Era yagamba (S.A.W) nti : (Ss’ebakodo yoyo atansabira bwenjogerw’ako waali) .

4

Era yagamba (S.A.W) nti : (Mazima Allah alina bamalaika ab’etawula munsi abantuusaako ebiramuso ebiva mubantu b’ekibiina kyange).

5

Era yagamba (S.A.W) nti : (Teriiyo n’omu antoolera ssalaamu okujjako nga Allah anziriza omw’oyo gwange nemuddamu ssalaamu) .

Zaker copied