(AL-HAMDU LILLAHI LLAZHI AHYAANA BAADA MA A-AMAATANA WA ILAIHI NNUSHUUR Amakulu : (Amatendo amalungi gonna ga Allah oyo atuddizza obulamu oluvannyuma lw’okutufiisa , era jaali y’eri obuddo)
(AL-HAMDU LILLAHI LLAZHII AFAANI FII JASADII . WARADDA ALAYYA RUUHII . WA AZHINA LII BIZHIKIRIH ) Amakulu : (Amatendo amalungi ga Allah oyo ampadde obulamu mumubiri gwange, nanziriza Omw’oyo gwange nanzikiriza okumw’0gerako ) .
(LAA ILAAHA IllA LLAHU WAHDAHU LAA SHARIIKA LAHU l,AHUl,-MULKU WALAHUL-HAMD WAIIUWA ALA KULLI SHAY-IN QADIIR . SUBHAANA IlAHl . WAL- HAMDU LILLAH WALAA lLAAHA ILLA LI.AH . WALLAHU AKBAR . WALAA HAWLA WALAA QUWWATA ILlA BlLLAHll.—AllYYl L-ADHIIM RABBI IGHIFIRLII ) . Amakulu: (Tewali kisinzibwa mubutuufu okujjako Allah yekka , talina kimw’egattako , obufuzi bwonna bubwe , n’amatendo gonna amalungi gage , yye kubuli kintu muyinza . Yayawukana Allah kw‘eby0 ebimugattibwaako , era amatendo gonna amlungi gage , era teri kisinzibwa mubutuufu okujjako Allah . Era Allah munene nnyo , tewali busobozi wadde amaanyi wabula bibeerawo nakw’agala kwa Allah , oyo 0w’awaggulu ow’ekitiibwa . Ayi omulezi wange nsaba onsonyiwe) .
Amakulu: (( Mazima entodebwa yeggulu nensi , n’0kukyuuka kyuka kw’ekiro n’emisana . ddala bubonero eri abo abalina amagezi . Abo ab’ogera ku Allah nga bayimiridde , oba nga batudde , oba nga bagalamidde , nga bafumiitiriza kuntonda yeggulu nensi (nga bagamba nti :) Ayi mulezi waffe bino tewabitondera bw’erere , wayawukana kubitonde (tukusaba) otukingirize ebibonerezo by’omuliro . Ayi omulezi waffe mazima oyo gw’oliba oyingizza omuliro , oliba omukkakkanyizza n’abaly’azamaanya tebagenda kufuna bataasa kulunaku kwenkomerero . Ayi omulezi waffe . mazima ffe tw’awulira 0muk’owooze nga ak’owoola (Abantu) bajje eri obukkiriza , nga agamba nti mukkirize omulezi wammwe , netukkiriza , Ayi omulezi waffe tusaba otusonyiwe eby’onono byaffe , otusanguleko ebibi byaffe , era otufiise nga tuli wamu n’abakozi b’obulungi . Ayi omulezi waffe tusaba otuwe ebyo byewatulag’anyisa nga biyitira kunnimi z’ababaka bo , totusw’aza kulunaku lwenkomerero . mazima ggwe toyawukana kundagaano . Omulezi wabwe n’abanukula nga agamba nti : Mazima nze sibuza (sittattana) mulimu gwa’muntu yenna mummwe , k’abeere musajja oba muky’ala , mwenna muvun’anyizibwa okungondera kyenkanyi (era nga mwenna bwemuli kyenkanyi mukusaasulwa empeera oba okubonerezebwa , era nga mwenna bwemwaava mu Adam ne Hawa) , Abo ab’asenguka nebajjibwa mumayumba gaabwe nebakosebwa kulwange , nebalwaana nebattibwa , mazima nja kubasangulako ebibi by’abwe era nja kubayingiza ejjanah ekulukutira wansi waayo emmigga nga yempeera okuva eri Allah , yye Allah y’alina empeera esinga obulungi . Okuky’ukakyuuka kw’abo abajeema muno munsi tekukugayaaza , okwo kw’eyagalako kutono nnyo , oluvannyuma obuddo bw’abwe muliro Jahannama , era ekyo kifo kibi nnyo . Wabula abo abatya omulezi waabwe bagenda kufuna ejjanah ekulukutira wansi w’ayo emigga , nga ky’ekifo eky’abategekerwa okuva eri Allah , era ebyo ebiri ewa Allah by’ebirungi eri abo abalong’ofu . Era mazima mw’abo bannanyini kitabo mulimu abakkiriza Allah n’ebyo ebyassibwa jemuli n’ebyo ebyassibwa jebali , nga bagonvu kulwa Allah , tebatunda mateeka ga Allah muwendo mutono (Tebagany’oma wabula bagatwala nga gabbeeyi teri kigasinga) abo balina empeera y’abwe eri omulezi wabwe (Allah) mazima Allah mwangu mukubala (Emirimu jeebitonde bye) Abange mmwe abakkiriza mugumiikirize , era munyweere , era mw’erinde abalabe , era mutye Allah muly’oke mulokoke )) .